2 Chronicles 32:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Kezekiya yalwala n'ajula okufa, ne yeegayirira Omukama; yamuwulira n'amuwa akabonero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. N'asaba Mukama amuwonye, Mukama n'amuddamu n'akabonero nti ajja kuwona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo Heezeekiya n'alwala, n'ajula okufa. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'ayogera naye era n'amuwa akabonero nti ajja kuwona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa: n'asaba Mukama; n'ayogera naye n'amuwa akabonero.