2 Chronicles 32:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omutima gwe gwekuza, Kezekiya n'atamuddiza kwenkanankana na birungi bye yali afunye. N'olw'ekyo obusungu bw'Omukama ne bumujjira, ne bujja ne ku Yuda ne Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Keezeekiya n'ateebaza olw'ekisa ekya mukolerwa, olwa malala agaali mu ye. obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubukira ku ye, ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Heezeekiya ne yeekuza n'ateebaza nga bwe kyali kigwanira olw'ekirungi kye yakolerwa, Mukama kyeyava amusunguwalira ye ne Buyudaaya era ne Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Keezeekiya n'atasasula nate ng'ekisa bwe kyali kye yakolwa; kubanga omutima gwe gwegulumiza: obusungu kyebwava bubeera ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.