2 Chronicles 32:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma yejjusa olw'omutima gwe okwewanika, n'abantu ab'omu Yeruzaalemu ne beetoowaza. Olw'okubeera ekyo, obusungu bw'Omukama tebwabagwira mu budde bwa Kezekiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma Keezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemi ne beetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, obusungu bwa Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Heezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemu ne beetoowaza olw'okwekuza kwe okwo, Mukama n'atabasunguwalira mu mirembe gya Heezeekiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye Keezeekiya ne yeetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, ye n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi, obusungu bwa Mukama ne butabatuukako ku mirembe gya Keezeekiya.