2 Chronicles 32:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yali mugagga nga wa kitiibwa nnyo; yeezimbira amawanika olw'eby'obugagga bwe: ffeeza, zaabu, amayinja ag'omuwendo, eby'akaloosa, engabo, na buli ngeri ya bintu bya muwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini, ne yeezimbira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, amayinja ag'omuwendo omungi, n'eby'akaloosa, n'engabo, n'ag'ebintu byonna ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'afuna obugagga bungi n'ekitiibwa kinene. Ne yeefunira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo, n'ebyakaloosa, n'engabo, n'ebintu byonna ebirungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini: ne yeefunira amawanika aga ffeeza n'aga zaabu n'ag'amayinja ag'omuwendo omungi n'ag'eby'akaloosa n'ag'engabo n'ag'ebintu byonna ebirungi;