2 Chronicles 32:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazimba amaterekero olw'envujjo ku ŋŋano, evviini ensu, n'omuzigo; yakola n'ebiraalo by'ente n'engo omukuumirwa amagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba n'amaterekero g'eŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta. N'azimba n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'ebisibo by'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amayumba agaterekebwamu ebikungulwa eby'eŋŋaano, n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'amagana mu bisibo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'ennyumba ez'okuterekeramu omwaka ogw'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta: n'ennyumba ez'ebisolo eby'engeri zonna n'amagana mu bisibo.