2 Chronicles 32:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazimba n'ebyalo, n'ayongera ku bisibo n'amagana butabala, kubanga Omukama yali amuwadde eby'obugagga bingi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga, embuzi n'ente, bingi nnyo, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga n'embuzi n'ente nnyingi, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne yeefunira ebibuga n'embuzi n'ente bye yalina bingi nnyo: kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo nnyini.