2 Chronicles 32:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ateesa n'abakungu ko n'abagabe b'eggye bazibe ensulo zonna ez'enzizi ezaali ebweru w'ekibuga; n'abantu bonna ne bamuyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ateesa n'abakungu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne yeebuuza ku bakungu be ne ku basajja be ab'amaanyi, okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ateesa n'abakulu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba amazzi ag'omu nzizi ezaali ebweru w'ekibuga; ne bamuyamba.