2 Chronicles 32:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya ye yaziba engulu akagga Gikoni gye kafubutukira, amazzi n'agayisa mu mukutu n'agalaza ebugwanjuba bw'Ekibuga kya Dawudi. Byonna bye yakola byamulamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Keezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gikoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya yalina omukisa mu mirimu gye gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Heezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gihoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Heezeekiya yalina omukisa mu byonna bye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo Keezeekiya n'aziba oluzzi olwa waggulu olw'amazzi aga Gikoni, n'agaluŋŋamya okugaserengeseza ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya n'alaba omukisa mu mirimu gye gyonna.