2 Chronicles 32:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abafuzi b'e Babiloni bwe baamutumira ababaka okumubuuza ku ky'ekyewuunyo ekyali kibaddewo mu nsi, Katonda n'asooka amuleka, amugeze, amanye byonna ebyamuli mu mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu bigambo by'ababaka abaatumibwa abakulu b'e Babbulooni okumubuuza ku ky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne mu by'ababaka b'abakungu b'e Babilooni abaamutumirwa okubuuza ekyamagero ekyatuuka mu nsi ye, Katonda n'amuleka okumugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu bigambo by'ababaka b'abakulu b'e Babulooni abaamutumira okubuuza eky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amuleka okumukema alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.