2 Chronicles 32:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika awo ku kasozi akambuka ku biggya by'abazzukulu ba Dawudi; Yuda yenna n'abantu b'omu Yeruzaalemu bonna baamukungubagira. Manasse mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya naafa, ne bamuziika mu kitundu ekya waggulu mu masiro ga bazzukulu ba Dawudi. Yuda yenna n'ab'omu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amusikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kitundu ekya waggulu eky'amasiro ga bazzukulu ba Dawudi. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Mutabani we Manasse n'amusikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika awalinnyirwa mu masiro ga batabani ba Dawudi: Yuda yenna n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amuddira mu bigere.