2 Chronicles 32:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bakuŋŋaana bangi, ne baziba enzizi zonna n'omugga oguyita mu kitundu ekyo. Baali bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Assuri bandisanze amazzi amangi gati?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo ez'amazzi n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b'e Bwasuli basanga amazzi amangi nga bazze?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo zonna ez'amazzi era n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Assiriya basanga amazzi amangi nga bazze?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n'akagga akayita wakati mu nsi nga boogera nti Bakabaka b'e Bwasuli okujja ne basanga amazzi amangi lwaki?