2 Chronicles 32:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alonda abagabe ab'okuduumira eggye, n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu luggya lw'omulyango gw'ekibuga, n'abagumya ng'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateekewo abaduumizi b'amagye okulabiriranga abantu, era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, nga agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu n'abateekako abaduumizi b'amagye okubalabirira. Era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, n'abagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'assaawo abaami abalwanyi okufuga abantu, n'abakuŋŋaanyiza gy'ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okusanyusa nti