2 Chronicles 32:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mube bagumu, bazira. Muleke kutya, yadde okutekemuka olwa kabaka wa Assuri, n'eggye lye eddene, kubanga ffe tuli ba maanyi okumusinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mube n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli, newakubadde olw'egye lyonna eriri naye, kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mube ba maanyi era bamalirivu, temutya era temuterebuka okulaba kabaka wa Assiriya, wadde okulaba eggye lyonna eriri naye, kubanga tulina ow'obuyinza okusinga abali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mube n'amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye: