2 Chronicles 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ky'alina mukono gwa mubiri bubiri, naye ffe gwe tulina ye Mukama Katonda waffe, okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Kezekiya kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye ffe tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba era n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo ebyo, ebya Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.