2 Chronicles 32:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyumako kabaka Sennakeribu owa Assuri n'eggye lye lyonna, bwe baali bakyazinze Lakisi, n'atuma abaweereza be e Yeruzaalemu batwalire Kezekiya kabaka wa Yuda n'abantu bonna aba Yuda obubaka buno nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli yali ng'azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaddu be eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri abantu ba Yuda bonna abaali e Yerusaalemi, ng'agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka wa Assiriya eyali azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaweereza be e Yerusaalemu eri Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, n'eri abantu b'omu Buyudaaya bonna abaali e Yerusaalemu, ng'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atuma abaddu be e Yerusaalemi (era yali ng'ayolekedde Lakisi n'amaanyi ge gonna wamu naye,) eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri Yuda yenna abaali e Yerusaalemi, ng'ayogera nti