2 Chronicles 33:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyeyava abayimbulirako abagabe b'eggye lya kabaka wa Assuri; baawamba Manasse n'amalobo, ne bamusiba enjegere z'ekikomo, ne bamutwala e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'Assiriya ne bakwata Manasse n'ebyuma ebiri ng'amalobo ne bamusiba ku njegere ez'ekikomo ne bamutwala e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyeyava abaleetako abaami b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babulooni.