2 Chronicles 33:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasaba ew'Omukama, Omukama n'awulira okuwanjaga kwe, n'amuzza e Yeruzaalemu mu bwakabaka bwe; Manasse n'ategeera nti Omukama ye Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amusaba, Mukama n'awulira okwegayirira kwe, n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asaba Katonda, Katonda n'akkiriza okwegayirira kwe n'awulira by'amusaba, n'amukomyawo e Yerusaalemu mu bwakabaka bwe. Awo Manasse n'amanya nga Mukama ye Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amusaba; ne yeegayirirwa ye n'awulira okwegayirira kwe n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda.