2 Chronicles 33:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma yazimba bbugwe ow'ebweru w'Ekibuga kya Dawudi, ebugwanjuba bw'akagga Gikoni mu kiwonvu, okutuukira ddala ku Mulyango gw'Ebyennyanja; yamwetoolooza akasozi Ofeli era n'amwongerako nnyo obugulumivu. Yassa abagabe b'eggye mu bibuga bya Yuda byonna okuli ebigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw'Ebyennyanja, n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Oferi, n'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko ebigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Manasse n'azimba ekigo eky'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda olwa Gihoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango gw'Ebyennyanja n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Ofeli. N'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku luuyi lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu mulyango ogw'ebyennyanja; ne yeetoolooza Oferi n'akigulumiza waggulu nnyo nnyini: n'ateeka abaami abazira mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera.