2 Chronicles 33:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggyawo balubaale abagwira, n'aggya mu Kiggwa kya Katonda ekifaananyi kya lubaale, n'emyaliiro gye yali akoze ku lusozi lw'Ekiggwa ne mu Yeruzaalemu, byonna n'abisuula ebweru w'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi ekyole kye yali atadde mu nnyumba ya Mukama, n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, byonna n'abisuula ebweru w'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggya mu Ssinzizo balubaale b'abagwira, n'ekifaananyi kye yali ataddemu, ne zaalutaari ze yali azimbye ku lusozi olw'Essinzizo n'awalala mu Yerusaalemu. Ebyo byonna n'abisuula ebweru w'e kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi mu nnyuniba ya Mukama n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, n'abisuula ebweru w'ekibuga.