2 Chronicles 33:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazzaawo omwaliiro gw'Omukama n'atambirirako ebitambiro eby'okussa ekimu n'eby'okwebaza, n'alagira Yuda aweerezenga Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azimba buggya alutaari ya Mukama, n'aweerayo ebitambiro ebiweebwayo olw'okutabagana, n'eby'okwebaza, n'alagira ab'omu Buyudaaya okuweerezanga Mukama Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri.