2 Chronicles 33:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Manasse, n'essaala ye ewa Katonda we, n'ebigambo abalabi bye baamugambanga mu linnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we, n'ebigambo by'abalabi abaayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, byawandiikibwa mu kitabo kye bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Manasse bye yakola, n'okusaba kwe yasabamu Katonda we, n'ebigambo abalanzi bye baayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Yisirayeli, byawandiikibwa mu Bikolwa bya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we n'ebigambo by'abalabi abaayogereranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, laba, byawandiikibwa mu bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri.