2 Chronicles 33:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essaala ye n'okuwulirwa, ebibi bye byonna, okwonooneka kwe, ebifo mwe yazimba ebifo ebigulumivu ne mwe yasimba empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale nga tannaba kwenenya, byawandiikibwa mu bitabo bya Kozayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusaba kwe n'okuddamu kwa Katonda, ebibi bye byonna, n'okusobya kwe n'ebifo ebigulumivu bye yazimba, n'ebifaananyi bya Asera byeyakola, nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu byafaayo bya Kozayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye yasaba Katonda era nga Katonda bwe yakkiriza kye yamusaba, ebibi bye byonna n'okusobya kwe, n'ebifo ebigulumivu bye yazimba okusinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera bye yateekawo, wamu n'ebifaananyi ebyole bye yakola nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu Byafaayo bya Hozayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okusaba kwe era Katonda bwe yeegayirirwa ye n'okwonoona kwe kwonna n'okusobya kwe n'ebifo mwe yazimbira ebifo ebigulumivu n'asimba Baasera n'ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza: laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Kozayi.