2 Chronicles 33:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, ng'okukola ebyenyinyalwa by'amawanga Omukama ge yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.