2 Chronicles 33:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga kitaawe Manasse bwe yakola. Amoni yaweereza n'okutambirira ebifaananyi bya balubaale byonna Manasse bye yali aweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna, Manase kitaawe bye yakola, n'abisinzanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebitasiimibwa Mukama, nga Manasse kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ebitambiro eri ebifaananyi ebyole, Manasse kitaawe bye yakola, n'abisinzanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakolanga: Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna Manase kitaawe bye yakola n'abiweerezanga.