2 Chronicles 33:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye teyeetoowaliza Mukama nga kitaawe bwe yakola; Amoni yayongera bwongezi bunene bwa musango gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, n'ateetoowaliza Mukama, wabula ne yeeyongera bweyongezi okusobya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'ateetoowaliza Mukama nga Manasse kitaawe bwe yeetoowaza, wabula Amoni oyo ne yeeyongera bweyongezi okusobya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateetoowaza mu maaso ga Mukama nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza; naye Amoni oyo ne yeeyongerayongeranga okusobya.