2 Chronicles 33:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi ne batta bonna abeekobera kabaka Amoni; mu kifo kye ne bassaawo Yosiya mutabani we amusikire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana okutta kabaka Amoni, ne bafuula Yosiya, mutabani we, kabaka mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abantu b'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya, n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.