2 Chronicles 33:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddamu n'azimba ebifo ebigulumivu Kezekiya kitaawe bye yali asaanyizzaawo; yassaawo emyaliiro gya Baali, n'akola empagi ya Asera. Yavunnamira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu, n'alisinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola ebifaananyi bya Asera, n'asinza byonna ebyakira mu ggulu n'aliweerezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga yazimba buggya ebifo ebigulumivu Heezeekiya kitaawe bye yali amenyeemenye. N'ateerawo Baali alutaari, n'akola ebifaananyi bya lubaale Asera, era n'asinza ebyakira mu ggulu, n'abiweerezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Baasera n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.