2 Chronicles 33:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawonga batabani be mu muliro mu Kiwonvu Beni-Yinnomu; yakolanga eby'obulogo n'okusamira; yasamiranga n'okwebuuza ku mizimu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'amunyiiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'awaayo abaana be ng'ekiweebwayo, ne bookebwa mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'akola eby'obulogo n'eby'obuganga, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza nnyo Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ayokera batabani be mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu ng'ekiweebwayo ekyokebwa era ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku balaguzi, n'akola eby'obulogo, n'akolagananga n'abasamize. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ayisa mu muliro abaana be mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'aba n'eby'obulogo n'eby'obuganga: n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.