2 Chronicles 33:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddira ekifaananyi kya lubaale kye yali awoze n'akissa mu Kiggwa, Omukama kye yayogerako ng'agamba Dawudi ne Solomoni mutabani we nti: “Mu Kiggwa muno ne mu Yeruzaalemu, ekibuga kye nalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli, mwe ndissa erinnya lyange emirembe gyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira ekifaananyi ekyole kye yakola n'akiteeka mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu nnyumba eno, ne mu Yerusaalemi ekibuga kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri, mmwe nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifaananyi kya lubaale kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Katonda lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino, ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asimba ekifaananyi ekyole eky'esanamu kye yakola mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri we nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna: