2 Chronicles 33:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era siriganya kigere kya Yisirayeli kuddamu kuleka nsi gye nassizaawo bajjajjaabwe, singa balikwata byonna bye nabayigiriza ebikwata ku mateeka, ebiragiro n'ennamula bye nawa nga mpita mu Musa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, nga bakwata amateeka gonna, n'ebiragiro n'obulombolombo bye nnabawa nga mbiyisa mu Musa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo, bye nabawa nga mbiyisa mu Musa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnateekerawo bajjajjammwe; bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo mu mukono gwa Musa.