2 Chronicles 33:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Manasse yawubisa Yuda n'abantu b'omu Yeruzaalemu ne boonoona n'okusinga amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli bajja mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaanai ba Isiraeri.