2 Chronicles 34:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babikwasa bannampala abaakuliranga omulimu gw'okulongoosa Ekiggwa ky'Omukama; bano ne baziwa abakozi b'omulimu abaali bakola mu Kiggwa ky'Omukama okuddaabiriza n'okuzzaawo Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwe ennyumba ya Mukama. Abo be basasulanga abakozi abaddaabirizanga n'okulongoosa ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bazikwasa abakozi abalabirira Essinzizo. Abakozi abo abakola mu Ssinzizo ne baziwaayo okulongoosa n'okuddaabiriza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagiwaayo mu mukono gw'abakozi abaalabiriranga ennyumba ya Mukama; abakozi abaakola omulimu mu nnyumba ya Mukama ne bagiwa okulongoosa n'okuddaabiriza ennyumba;