2 Chronicles 34:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baawanga ssente ababazzi n'abazimbi, bagule amayinja amayole n'emiti egy'emirabba n'eŋŋanzikizo eby'amayumba bakabaka ba Yuda ge baaleka ne gagwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawa ababazzi n'abazimbi effeeza okugula amayinja amabajje, n'emiti egy'okuddaabiriza ennyumba, bassekabaka ba Yuda ze baalagajjalira okuddaabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baziwa ababazzi n'abazimbi okugula amayinja amabajje n'emiti okuddaabiriza amayumba, bassekabaka ba Buyudaaya ge baaleka okwonooneka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
baagiwa ababazzi n'abazimbi, okugula amayinja amabajje n'emiti egy'okuyunga n'okubajja emiti egy'ennyumba bassekabaka ba Yuda ze baazikirizanga.