2 Chronicles 34:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baffundi omulimu baagukola n'omutima gwabwe gwonna. Bannampala abaalabiriranga omulimu baali: Yakati, Obadiya, Abaleevi ab'omu ssiga lya Merari, Zakariya ne Mesullamu, ow'omu ssiga lya Kewati. Abaleevi bonna, nga bakugu mu kukuba ebivuga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Abaabalabiriranga baali bano: Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merali; Zekkaliya ne Mesullamu, ab'omu lulyo lwa Kokasi. Abaleevi bonna baali bakugu mu kukuba ebivuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Ne bateekebwako Yahati ne Obadiya Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merari, ne Zekariya ne Mesullamu ab'omu lulyo lw'Abakohati okubalabirira. Abaleevi, bonna abaali abakugu mu bivuga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa: abalabirizi baabwe be bano, Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'oku batabani ba Merali; ne Zekkaliya ne Mesullamu, ab'oku batabani b'Abakokasi, okugikoza: n'abalala ku Baleevi, bonna abalina amagezi ag'ebintu ebivuga.