2 Chronicles 34:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
be baalabiriranga abeetissi n'okulambikanga abakozi aba buli mulimu. Abaleevi abamu baalinga bawandiisi, bakuumi ba bitabo oba baggazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era be baalabiriranga abeetissi b'ebintu, ne bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi n'abalala nga be bakulira abaggazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
be baalabiriranga abeetissi b'ebintu era nga be bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Ku Baleevi kwaliko abawandiisi, n'abaami n'abaggazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baalabirira abeetissi b'emigugu, ne bakoza bonna abaakola omulimu mu kuweereza okw'engeri zonna: ne ku Baleevi kwaliko abawandiisi n'abaami n'abaggazi.