2 Chronicles 34:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali baggya ssente ezaali zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama, Kilukiya kabona n'agwikiriza Ekitabo ky'Etteeka ly'Omukama eryaweebwa nga liyita mu Musa
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga Mukama agaaweebwa Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali baggyayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'Amateeka, Mukama ge yawa nga ayita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali baggyayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Hilukiya kabona n'azuula ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baggyamu effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa.