2 Chronicles 34:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Safani omuwandiisi n'ategeeza kabaka nti: “Kilukiya kabona yampadde ekitabo.” Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomera kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomeramu kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'asoma omwo mu maaso ga kabaka.