2 Chronicles 34:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, n'atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe; teyawunjukako kudda ku ddyo oba ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, n'atambuliranga mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugavaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambuliranga mu maknbo ga Dawudi kitaawe n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.