2 Chronicles 34:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugende mwebuuze ku Mukama ku lwange, ku lw'abalala bonna mu Yisirayeli ne mu Yuda yenna ku bigambo by'ekitabo ekyo ekyazuuliddwa, kubanga obusungu bw'Omukama bungi obutwesereddeko, kubanga bajjajjaffe tebaawulira kigambo kya Mukama; tebaakola nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Isiraeri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Yisirayeli ne Buyudaaya ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino bwe biri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abo abasigadde mu Isiraeri ne mu Yuda, eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.