2 Chronicles 34:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kilukiya n'abo kabaka be yali amusindise nabo ne bagenda ewa Kuluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokuwati mutabani wa Kasura, eyali akuuma ebyambalo. Yali asula mu Yeruzaalemu mu Gombolola ey'Okubiri. Ne bamwanjulira ensonga zaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi, muzzukulu wa Kasula, omuwanika w'ebyambalo, eyabeeranga mu Yerusaalemi, mu kitundu ekipya. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hilukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokati, era muzzukulu wa Hasura, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali alagidde ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tokasi mutabani wa Kasula omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye bwe batyo.