2 Chronicles 34:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abaddamu nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mugambe omusajja abasindise gye ndi nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti: Mugambe omusajja obatumye gye ndi
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti