2 Chronicles 34:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ŋŋenda kuzikiriza ekifo kino na bonna abakirimu ng'ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ekisomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Yuda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti, ‘Akabi ak'ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Buyudaaya nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomye mu maaso ga kabaka lwa Yuda: