2 Chronicles 34:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yuda eyabasindise okwebuuza ku Mukama mumugambe nti: Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku bigambo by'Ekitabo bye wawulidde:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka wa Buyudaaya abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti: Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti ku bigambo by'owulidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,