2 Chronicles 34:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kubanga omutima gwo gutengedde ne weetoowaliza Omukama ng'owulidde bye nayogeredde ekifo kino n'abakisulamu, n'oyuza ebyambalo byo, ne weetoowaza, n'okaaba mu maaso gange, nange nkuwulidde,’ Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebifa ku kifo kino, n'abo abakibeeramu, omutima gwo ne guba mugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, n'okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye ŋŋamba ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nange nkuwulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw'owulidde ebigambo bye ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo n'okaabira amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.