2 Chronicles 34:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kale nzija kukugatta ku bajjajjaabo, oliziikibwa mu ddembe, amaaso go tegaliraba kabenje ke nnaaleetera kifo kino n'abo abakisulamu.’ ” Ne bazzaayo ewa kabaka kye yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ” Ne bazaayo obubaka eri kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'oziikibwa mu ntaana yo mirembe, so toliraba bubi bwonna bwe ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakirimu.’ ” Ne baddayo ne babuulira kabaka ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ndikutwala eri bajjajjaabo, n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu.’ ” Ne bagenda, ne babibuulira kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino ne ku abo abakirimu. Ne baddiza kabaka ebigambo.