2 Chronicles 34:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomunaana ogw'obwakabaka bwe, ng'akyali muvubuka muto, yatandika okunoonya Katonda wa jjajjaawe Dawudi. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri yatandika okugogola mu Yuda ne mu Yeruzaalemu ebifo ebigulumivu, empagi za Asera, ebifaananyi bya balubaale ebibajje n'ebisaanuuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) mwe yatandikira okuggya mu Yuda ne mu Yerusaalemi ebifo ebigulumivu, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mu mwaka ogw'omunaana mu bufuzi bwe, ng'akyali muto, n'atandika okusinza Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri n'atandika okugogola Buyudaaya ne Yerusaalemu okumalamu ebifo ebigulumivu bye baasinzizaamu n'ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole n'ebiweese.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe: ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse.