2 Chronicles 34:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama wamu n'abasajja bonna ab'omu Yuda, abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu, bakabona, Abaleevi n'abantu bonna okuva kw'asooka okutuuka kw'asembayo, n'asoma bonna nga bawulira ebigambo byonna eby'Ekitabo ky'Endagaano ekyali kizuuliddwa mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi, ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano, ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayambuka mu Ssinzizo wamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya n'ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona n'Abaleevi era n'abantu abalala bonna abakulu n'abato, n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asomera mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.