2 Chronicles 34:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayimirira ku mpagi ye, n'addamu endagaano mu maaso g'Omukama: okugoberera Omukama, okukwatanga ebiragiro bye, empisa ze n'amateeka ge n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'okutuukiriza ebigambo by'Endagaano eyo ebyali biwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, okutuukirizanga ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, n'alagaanya Mukama okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambulanga okugobereranga Mukama n'okukwatanga amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna, okutuukiriza ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.