2 Chronicles 34:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagaanyisa bonna abaali mu Yeruzaalemu ne Benyamiini. Ab'omu Yeruzaalemu ne bakolanga ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw'egamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'akubiriza bonna abaaliwo mu Yerusaalemi na ba Benyamini okukakasa nti bajja kugikuuma. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'akubiriza Ababenyamiini n'abantu bonna abaaliwo mu Yerusaalemu okukakasa nti bajja kukuuma endagaano eyo. Awo ab'omu Yerusaalemu ne bakuuma endagaano ya Katonda, Katonda wa Bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'awaliriza bonna abaalabika mu Yerusaalemi ne Benyamini okugyesibira. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.