2 Chronicles 34:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosiya n'aggya ebifaananyi bya balubaale ebyenyinyalwa byonna mu nsi y'Abayisirayeli wonna; bonna abaali mu Yisirayeli n'abalagaanyisa okuweereza Omukama Katonda waabwe. Mu budde bwe bwonna nga mulamu tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yosiya n'aggya eby'emizizo byonna, mu bitundu byonna ebya abaana ba Isiraeri. N'akubiriza bonna abaali mu Isiraeri, okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya n'aggya ebyenyinyalwa byonna mu nsi y'Abayisirayeli. N'akubiriza bonna ab'omu Yisirayeli okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yosiya n'aggya emizizo gyonna mu nsi zonna ez'abaana ba Isiraeri, n'aweerezesa bonna abaalabika mu Isiraeri, okuweereza Mukama Katonda waabwe. Ennaku ze zonna tebaalekanga kugoberera Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.